Psalms 23

Zabbuli ya Dawudi.

1 a Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
2 bAngalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto.
Antwala awali amazzi amateefu.
3 cAkomyawo emmeeme yange.
Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu
olw’erinnya lye.
4 dNewaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;
kubanga ggwe oli nange.
Oluga lwo n’omuggo gwo
bye binsanyusa.

5 eOnsosootolera emmere
abalabe bange nga balaba;
onsiize amafuta ku mutwe,
Okusiiga omuntu amafuta ku mutwe, kaali kabonero akalaga nti omugenyi ayanirizibbwa ku mukolo.

ekikompe kyange kiyiwa.
6Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nange
ennaku zonna ez’obulamu bwange;
nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama,
ennaku zonna.
Copyright information for LugEEEE